[go: up one dir, main page]

Jump to content

Okuwuga

Bisangiddwa ku Wikipedia
okuwuga

Okuwuga – omuzannyo oguyamba okukola dduyiro

Baani abawuga

[kyusa | edit source]

Omuzannyo guno guzannyibwa abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. Guno gwe gumu ku mizannyo egizannyibwa mu buli nsi. Gusobola okuzannyibwa nga gulimu okuwakana oba olw’okunyumirwa. Abalala bagukola ng’okunyumirwa oba ng’emu ku ngeri y’okukola dduyiro.

Okuwuga mu masomero

[kyusa | edit source]

Ennaku zino amasomero mangi naddala aga primary ne nnasale agajjumbira omuzannyo guno. Amasomero ago gasaba abazadde sssente abaana basobole okutendekebwa okuwuga ne bwe kiba nti ku ssomero eryo tewali biwugiro. Bw’otunuulira obulamu obwedda, abaana mu byalo baawugiranga mu bidiba oba mu migga egitaliimu mazzi gakulukutira ku mbiro za maanyi.

Emigaso

[kyusa | edit source]

Kigambibwa nti okuwuga gumu ku mizannyo oguyamba buli kitundu kya mubiri okubeera nga kiriko kye kikola, kwe kugamba nti buli kitundu kya mubiri kikozesebwa dduyiro. Omuzannyo guno tegusosola, buli muntu yenna asobola okuwuga, si muto si mukulu.

Engeri y’okuwuga

[kyusa | edit source]

Omuzannyo gw’okuwuga gukolebwa bwe guti. Okuwuga y’engeri omuntu gye yeebongera mu mazzi ng’omuzanny, ng’akola dduyiro oba okwetaasa. Okwebonga okwo omuntu akukola ng’atambuza omubiri gwe mu mazzi. So ate era omuntu asobola okusiba omukka ng’ali mu mazzi, kye bayita okubbira n’aba ng’atambulira omwo okumala akaseera. Okuwuga kusoboka okukolebwa omuntu lwa nsonga nti omubiri gw’omuntu gulimu obuzito obugeraageranyizibwa ku bw’amazzi ne bugusobozesa okuseeyeeza ku mazzi.

Abannyonnyola ebyokuwuga bagamba nti omuntu asobola okuwuga olw’okuba nti obutoowerezi bwe bukkako katono ku bw’amazzi, ne kiba nti amazzi gasobola okuwanirira obuzito bw’omubiri omuntu ng’awuga.

Omuwuzi omulungi alina okubeera n’emikono nga gya maanyi ate ng’alina okuba ng’asobola okugita ne gyegolola nga bwe kisoboka. Kino kimuyamba okubeera ng’akuba amazzi. Abawuzi bagambibwa okuba nga balina obukodyo obw’enjawul nga bawunga. Abamu bagambibwa okubeera nga baskozesa nnyo emikono gyabwe, abalala magulu ate abamu bifuba. Obukodyo obwo busiŋŋana okusinziira ku bumanyirivu bw’omuntu bw’alina mu muzannyo guno.

Okuwuga mu nsi yonna

[kyusa | edit source]

Okuwuga gumu ku mizannyo egisinga ettutumu mu nsi yonna. Waliwo n’amawanga okuwuga mwe kuyigirizibwa ng’essomo ery’obuwaze. Guno era gwe gumu ku mizannyo egy’ettutumu mu egyo egya Olympics egizannyibwa buli luvannyuma lwa myaka ena.

Okwegendereza

[kyusa | edit source]

Wabula, omuzannyo guno gwetaagamu nnyo obwegendereza. Omuntu bw’aba ng’anaawuga, kisaana nnyo n’abeera ne banne oba ne wabaawo omuntu awo okumpi asobola okumulaba ng’awuga. N’abawuzi abatutumufu basobola okufuna obuzibu mu kuwuga. Omuntu asobola okubbira oba okufuna obuvune obw’engeri endala. Weewaawo obuzibu obwo busobola okubaawo, naye kigambibwa nti omuzannyo guno okutwaliza awamu tegutera kubaamu bulabe.

Enjogera eziva mu kuwuga

[kyusa | edit source]

Mu Luganda mulimu ekisoko ekyava ku kuwuga: “okuyita kungulu ng’omuwuzi.” Ekisoko kino kitegeeza nti omuwuzi tabeerera ddala eri wansi mu mazzi wabula ayitira awo kumpi nga kungulu kwa mazzi. Kino kiba kitegeeza omuntu okukola ekintu n’atakigenda wala oba n’atakimatiza.