Okuggyamu olubuto
Okuggyamu olubuto[[1]], kuba kuggyamu kanuunu nga tekanaba kufuluma nnabaana. Okuggyamu olubuto kukolebwa mu bugenderevu naye ng'ate wayinza okubaawo embeera we kiyinza okubaawo mu butali bugenderevu. Ekikolwa kino, ky'ekyo ekikolebwa okusindiikiriza olubuto okuvaamu.
Amawanga agasinga mu nsi tegakkiriza bantu baamu kuggyamu mbuto naye ng'ate waliwo amawanga agakkiriza ensonga eno. Okuggyama embuto bwe kwakirizibwa gavumenti mu nsi ezaakulaakulana, waliwo eddagala eriziyiza okufuna embuto, bwe kityo ensangi zino waliwo obujjanjabi obutukana n’omutindo wamu n’okulongosa abakyala nga baggyibwamu embuto.
Obulabe bw'okuggyamu embuto
kyusaEkikolwa ky'okuggyamu embuto kya mutawaanya nnyo. Ekikolwa kino kiviirako abantu abasukka mu 47,000 okufa ate ng'abantu abawera obukkadde 5,000,000 baweebwa ebitanda buli mwaka. Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kisemba nti abakyala bonna bakkirizibwe okuggyamu embuto mu ngeri etabokosa era kibeere nga kikolebwa mu butongole.
Kumpi abantu 56 be baggyamu embuto buli mwaka mu nsi yonna. Omuwendo gw’abaggyamu embuto gwakendeera wakati wa 2003 ne 2008, so ng'ate emyaka mingi emabega abaggyamu embuto baali bakendeera olw’okuba nti abantu baali basobola okwetuusaako enkola z'ekizaalaggumba. Mu mwaka gwa 2008, abakyala ebitundu 40% mu nsi baali bakkirizibwa okuggyamu embuto mu butongole.
Ebyafaayo by'okuggyamu embuto
kyusaOkuggyamu embuto kikolwa ekibaddengawo ne mu mirembe gy'emabega ddala. Kino kibaddenga kikolebwa na ddagala lya kinnansi, ebyuma ebyogi wamu n’amaanyi.
Amateeka ku kuggyamu embuto
kyusaAmateeka g’okuggyamu embuto gaawukana okwetoolola ensi yonna okusinziira ku by’obuwangwa n’eddiini mu mawanga ag'enjawulo. Mu nsi ezimu, ekikolwa kino kibaawo okusinziira ku ngeri omuntu gye yafunamu olubuto. Okugeza, omukyala atusiddwako ogw’obuliisa amanyi aba akkirizibwa okuggyamu olubuto, omukyala alina obuzibu mu nseke aba akkirizibwa okuluggyamu so ng'ate n’obwavu busobola okuba ensonga y’okuggyamu olubuto oli ng'alaba tagenda kusobola kulabirira mwana gw'azadde.